Main pages

Surah Al-Kafiroon ( The Disbelievers )

Luganda

Surah Al-Kafiroon ( The Disbelievers ) - Aya count 6

قُلْ يَٰٓأَيُّهَا ٱلْكَٰفِرُونَ ﴿١﴾

1. Bagambe nti, abange mmwe abatakkiriza (abawakanyi).

لَآ أَعْبُدُ مَا تَعْبُدُونَ ﴿٢﴾

2. Ssisinza ebyo bye musinza (amasanamu, lubaale, n'ebirala).

وَلَآ أَنتُمْ عَٰبِدُونَ مَآ أَعْبُدُ ﴿٣﴾

3. Wadde namwe temusinza oyo gwe nsinza (ali omu mu bwa Katonda bwe).

وَلَآ أَنَا۠ عَابِدٌۭ مَّا عَبَدتُّمْ ﴿٤﴾

4. Era siri waakusinza ebyo bye musinza.

وَلَآ أَنتُمْ عَٰبِدُونَ مَآ أَعْبُدُ ﴿٥﴾

5. Era nammwe temuli baakusinza oyo gwensinza.

لَكُمْ دِينُكُمْ وَلِىَ دِينِ ﴿٦﴾

6. Mulina e nkola yammwe (ey'okusinza ba Katonda abangi, nange nnina enkola yange (ey'okusinza Katonda omu yekka).